Ebibadde mu Nsisinkano ya Katikkiro Mayiga n’Abataka Abakulu b’Obusolya
Katikkiro Charles Peter Mayiga asisinkanye Abataka Abakulu b’Obusolya ne ba Katikkiro baabwe mu nsisinkano yaabwe eya buli mwaka etudde mu Bulange e Mmengo.
Katikkiro Mayiga wano w’asinzidde n’asaba Abataka Abakulu b’Obusolya okunyiikirira ensonga eziyitimusa Ebika bisobole okuddamu omuggundu n’okugatta ku kiruubirirwa eky’okuzza Buganda ku ntikko. Wano abajjukiza ennyingo 6 Kabaka ze yabalambika mu bubaka bwe yawereza nga 18/09/2025 mu lukiiko lw’Abataka olw’enjawulo era olwatuula mu Bulange e Mmengo. “Ebika ly’essiga lya Buganda okwetoololerwa obulamu bw’Omuganda obwa bulijjo; mu kutuuma amannya, emikolo egy’obuwangwa, n’ebirala. Kale kirungi bwe tunyiikirira ensonga eziyitimusa Ebika byaffe” Katikkiro Mayiga.


Owoomumbuga ajjukiza Abataka ensonga zino 6 ezaali mu bubaka bwa Nnyinimu obwa 18/Mutunda/2025;
1. Okwejjukanya ebyafaayo by’Obwakabaka.
2. Okumanya nti Kabaka ye Ssaabataka era ye ky’ekitikkiro.
3. Okutumbula enkulaakulana mu Bika.
4. Abaana b’Abataka okusomesebwa.
5. Okuwagira bazzukulu bammwe abaliko eby’amaanyi bye bakoze.
6. Okunyweza obukulembeze mu Bika, buli Kika kibeere ne Katikkiro n’olukiiko olufuzi era banyulwe n’eri Ssaabataka.
Owek. Mayiga wano era akalaatidde ba katikkiro b’Ebika okulondoola enteekateeka z’Ebika n’okulungamya enkiiko ezikulembera Ebika olwo bawabule Abataka b’Obusolya kw’ebyo ebirina okukolebwa mu kukulaakulanya Ebika.
Owoomumbuga yebazizza Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka Omutaka Nnamwama Augustine Kizito Mutumba olw’okutumbula obumu mu Bataka era n’abasaba okutambulira awamu n’abakulembeze abalala abakulembererako Ssaabasajja Obuganda.
Ye Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka, Nnamwama Augustine Kizito Mutumba alambuludde ezimu ku nteekateeka ze bataddeko omulaka mu Bika; omuli enkiiko eza buli mwezi, omusomo ku buwangwa n’ennono, okulamaga ku Butaka n’ebirala.
Ono yebazizza Katikkiro ne Kabineeti ya Kabaka olw’omulimu gwe bakola ku ludda olw’Ebika, obuwangwa n’ennono era ategeezeza nti enkola ya Minisita w’Obuwangwa n’Ennono okulambula Ebika ebakoze bulungi ddala.
Omutaka Nnamwama era aliiko ensonga n’ategeezezza Katikkiro, olukiiko lw’Abataka ze lwagala zitunulwemu omuli; Abataka abaggya okwanjula Embuga, okuddaabiriza ebibumbe by’Ebika, n’Elensonga endala ez’enkizo era Katikkiro amuwadde obweyamu nti zikolebwako era zijja kugguka.
Ensisinkano yetabiddwamu Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Owek. Patrick Luwaga Mugumbule, Minisita w’Obuwangwa n’Ennono Owek. Anthony Wamala ne Minisita Israel Kazibwe Kitooke ow’Amawulire, Okukunga Abantu era Omwogezi w’Obwakabaka.