Education, Health, Sports

Buganda Royal Institute Ewangudde Emizannyo gy’Ebitongole 2025

Buli mwaka ebitongole by’Obwakabaka bwa Buganda bivuganya mu emizannyo okuli omweso, ludo, omupiira ogw’okubaka n’ogwebigere, volleyball, emisinde, okusika omuguwa, n’emirala, era n’omwaka guno emizannyo gyayindidde mu Lubiri e Mengo wansi w’omulamwa ‘OMMANYI’ ng’ekigendererwa be baweereza b’Obwakabaka okumanyagana n’okubeera obumu.

“Bwetuba ku mirimu, ekimu ku bitwanguyiza obuweereza kwe kumanya omuntu okusukka ku linnya lye, n’otegeera embeera ze, nti mukozi munnange bw’abeera omusanyufu yeyisa atya, ate bw’aba anyiize yeyisa atya, bw’asanyuka osanyuka naye, oba bw’anakuwala omugumya?, omuntu bw’otamutegeera tosobola kukolagana naye” Katikkiro Mayiga.

Katikkiro Charles Peter Mayiga mu kuggulawo emizannyo gino, annyikiza obukulu bw’okumanyagana mu bakozi b’ebitongole ng’akikaatiriza nti; “emmotoka etambula obulungi buli kitundu kyayo kiba kirina okukola omulimu gwakyo; gear box, yingini oba emipiira, era omuvuzi omulungi amanya buli kitundu ekiri ku mmotoka embeera mwekiri, kale bwetuba ab’okukola emirimu gya Kabaka, ne gibala ebibala e y’okuzza Buganda ku ntikko, abaweereza tulina kukola ng’ebitundu by’emmotoka bwe bibeera, tulina okumanya embeera zaabo be tukola nabo, tetwagala bazannyira ku mirimu wadde abayomba.Kamalabyonna

Kamalabyonna wa Buganda agamba nti abaweereza b’Obwakabaka ba nju emu nga kitaabwe ye Kabaka, kale tebasobola kukola bulungi mirimu okuggyako nga bemanyi bulungi, bwatyo yebazizza olukiiko oluteesiteesi olw’omulamwa ‘Ommanyi’ ate n’olwokukola enteekateeka ennungi ey’emizannyo gino. Wano akalaatidde abakulira ebitongole by’Obwakabaka byonna bulijjo okukubirizanga abakozi baabwe bonna okwetaba mu mizannyo gino.

Minisita w’Abavubuka, Emizannyo n’Ebitone Owek. Robert Serwanga ategeezeza nti wabaddewo okuvuganya okw’amaanyi mu bitongole by’Obwakabaka mu mizannyo gyonna ekiraga okwetekateeka okulungi, ayozaayozezza abawanguzi, era ne yeyanza Kabaka olw’omukisa gwe yawa ebitongole bye okwegazanyiza mu Lubiri lwe.

Ssentebe w’Olukiiko lwa Bassenkulu b’ebitongole by’Obwakabaka, Omuk. Rolland Sseebuufu naye yeyanzizza Maasomoogi olw’okuwagiranga enteekateeka zino buli mwaka nga ne ku mulundi guno yawaddewo ente 4 eri abaweereza be, yebazizza ba Ssenkulu b’ebitongole byonna obuwagizi bwe bawaddeyo okulaba nti omutindo gw’emizannyo gwongedde okusituka.

Omuk. Ssebuufu alangiridde nti omwaka ogujja ekitongole ki Nnaabagereka Development Foundation kye kijja okutegeka emizannyo gino, nga akati ki kaggya ku Muteesa I Royal University abaategese omwaka guno.

Prof. Vincent Kakembo, Omumyuka wa Cansala wa Ssetendekero Muteesa I Royal University, nga be bakulembeddemu enteekateeka z’omwaka guno atenderezza obujjumbize bw’abaweereza mu mizannyo gino, empisa ezooleseddwa wamu n’okukolera awamu, nga buli omu anonyeza ekitongole kye obuwanguzi.

Yebazizza omukisa ogwabaweebwa okutegeka emizannyo gino n’asiima bonna ababakwatiddeko okuggusa enteekateeka obulungi.

Buganda Royal Institute ewangudde emizannyo gino n’obubonero 249.9, eddiriddwa Nkuluze n’obubonero 249.1 ate mu kyokusatu Buganda Land Board n’obubonero 247.5. Ebitongole 22 bye byetabye mu mizannyo gy’omwaka guno.

Leave A Comment

Your Comment
All comments are held for moderation.